Jeremiah 44:17-18

17 aTujja kukola byonna bye twagambye okukola. Tujja kwotereza kabaka omukazi ow’eggulu obubaane, tuweeyo n’ebiweebwayo ebyokunywa nga bwe twakolanga, ffe ne bakitaffe, ne bakabaka baffe n’abakungu baffe mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo z’e Yerusaalemi. Mu biseera ebyo twalina emmere nnyingi era nga tuli bulungi nga tetutuukibwako kabi. 18 bNaye okuva lwe twalekeraawo okwotereza kabaka omukazi ow’eggulu obubaane, n’okumuwa ekiweebwayo ekyokunywa, tetubadde na kantu konna era tubadde tuzikirira n’ekitala n’enjala.”

Copyright information for LugEEEE